1 Kings 20:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'agamba nti: “Oba bajja lwa mirembe, mubakwate nga balamu; oba bazze ku lutalo, era mubakwate nga balamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Bwe baba bazze na mirembe, mubawambe, ne bwe baba nga baze ku lutalo, era mubawambe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Benikadadi n'alagira nti Ne bwe baba bajjiridde mirembe, mubawambe; ne bwe baba bajjiridde bulwa, mubawambe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alagira nti: “Ne bwe banaaba bazze kusaba mirembe, mubawambe mubaleete nga balamu, ne bwe banaaba bazze kulwana, era mubawambe mubaleete nga balamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Ne bwe baba bafulumidde mirembe, mubawambe; ne bwe baba bafulumidde bulwa, mubawambe.