1 Kings 20:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'avaayo; n'atta embalaasi n'ebigaali, n'akuba bubi Aramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka wa Isirayiri n’abagobera ddala era n’awamba embalaasi n’amagaali, era Abasuuli bangi ne bafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Isiraeri n'agenda ne yeetaba mu lutalo, n'awamba embalaasi n'amagaali, n'atta Abasuuli bangi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli n'agenda ne yeetaba mu lutalo, n'azikiriza embalaasi n'amagaali, n'atta Abasiriya bangi nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka wa Isiraeri n'afuluma n'akuba embalaasi n'amagaali, n'atta Abasuuli olutta lunene.