1 Kings 20:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi n'asembera ewa kabaka wa Yisirayeli n'amugamba nti: “Genda wenyweze, era wefumiitirize ozuule eky'okukola, kubanga ku ntandikwa y'omwaka, kabaka wa Aramu ajja kwambuka okukulumba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ebyo nga biwedde, nnabbi n’agenda eri kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti, “Weenyweze, olabe ekiteekwa okukolebwa, kubanga omwaka ogunaddirira kabaka w’e Busuuli ajja kukulumba nate.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnabbi n'asemberera kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Genda wenyweze, weetegereze olabe by'onookola: kubanga ku ntandikwa y'omwaka ogujja, kabaka w'e Busuuli ajja kuddamu okukulumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omulanzi oli n'agenda eri kabaka wa Yisirayeli, n'amugamba nti: “Genda weenyweze, weetegereze olabe ky'onookola, kubanga omwaka bwe gunaaba gutandika, kabaka wa Siriya ajja kudda akulumbe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nnabbi n'asemberera kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Genda oddemu amaanyi weetegereze olabe by'onookola: kubanga omwaka bwe gulidda kabaka w'e Busuuli alikutabaala.