1 Kings 20:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza ba kabaka wa Aramu ne bagamba Beni-Adadi nti: “Balubaale baabwe balubaale ba nsozi, kyebaava batusinza amaanyi. Singa tulwana nabo mu miseetwe, olwo tujja kubasinza amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo, abakungu ba kabaka w’e Busuuli ne bamuwa amagezi nti, “Bakatonda b’Abayisirayiri bakatonda ba nsozi, era kyebavudde batusinza amaanyi. Naye bwe tunaabalwanyisizza mu lusenyi, mazima ddala tunaabasinza amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaddu ba kabaka w'e Busuuli ne bamugamba nti Katonda wa Isiraeri, katonda wa ku nsozi; kye baava batusinga amaanyi: naye tulwanire nabo mu lusenyi, tetulirema kubawangula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakungu ba kabaka wa Siriya ne bamugamba nti: “Lubaale w'Abayisirayeli, lubaale wa ku nsozi, kyebaava batusinga amaanyi. Naye tubalwanyisize mu lusenyi, olwo mazima tujja kubasinga amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaddu ba kabaka w'e Busuuli ne bamugamba nti Katonda waabwe katonda wa ku nsozi; kyebaava batusinga amaanyi: naye tulwanire nabo mu lusenyi, kale tetulirema kubasinga bo amaanyi.