1 Kings 20:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zzaawo omuwendo gw'abatabaazi bo abaafa, ku buli mbalaasi zzaawo endala, na ku buli kigaali zzaawo ekirala. Olwo tujja kukwatagana nabo mu miseetwe. Tujja kubasinza amaanyi.” N'akkiriza bye baagamba, n'akola bw'atyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oteekwa okufuna eggye ery’enkana liri lye wafiirwa, embalaasi edde mu kifo ky’embalaasi, n’eggaali mu kifo ky’eggaali, tulyoke tulwane nabo mu lusenyi, olwo tunaabasinzizza ddala amaanyi.” N’abawuliriza era n’akola bw’atyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era weebalire eggye eryenkanankana n'eggye lye wafiirwa, embalaasi okudda mu kifo ky'embalaasi, n'eggaali okudda mu kifo ky'eggaali: kale tulirwana nabo mu lusenyi, era tulibawangula. Awo n'awulira eddoboozi lyabwe n'akola bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bala oweze eggye eryenkanankana n'eggye lye wafiirwa: awaali embalaasi, ozzeewo embalaasi, n'awaali eggaali, ozzeewo eggaali, tubalwanyisize mu lusenyi, tetuuleme kubasinga maanyi.” Kabaka Benihadadi n'akkiriza amagezi ge baamuwa, n'agagoberera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era weebalire eggye erifaanana eggye lye wafiirwa, embalaasi okudda mu kifo ky'embalaasi, n'eggaali okudda mu kifo ky'eggaali: kale tulirwanira nabo mu lusenyi, era tetulirema kubasinga amaanyi. Awo n'awulira eddoboozi lyabwe n'akola bw'atyo.