1 Kings 20:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku ntandikwa y'omwaka, Beni-Adadi n'akunga Abaaramu, n'agenda e Afeki alwanyise Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwaka ogwaddirira Benikadadi n’akuŋŋaanya Abasuuli, n’ayambuka mu Afeki okulwana ne Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwaka bwe gwatandika, Benikadadi n'akuŋŋaanya eggye ly'Abasuuli n'agenda mu Afeki okulwanyisa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwaka bwe gwali nga gutandika, n'akuŋŋaanya Abasiriya, n'agenda nabo mu Afeki okulwanyisa Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka omwaka bwe gwadda Benikadadi n’ayolesa Abasuuli n'ayambuka n'agenda e Afeki okulwana ne Isiraeri.