1 Kings 20:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abantu ba Yisirayeli nabo ne bakungibwa; bwe baamala okufuna entanda, ne bagenda okubasisinkana. Baasiisira babatunuulidde, naye nga bali ng'amagana abiri obubiri ag'embuzi; Abaaramu bo nga bajjudde wonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ba Isirayiri nabo ne bakuŋŋaana ne baweebwa entanda yaabwe, ne bagenda okubasisinkana. Abayisirayiri ne basiisira okuboolekera ne bafaanana ng’ebisibo bibiri ebitono eby’embuzi, naye Abasuuli ne babuna ensi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eggye ly'Abaisiraeri ne likuŋŋaanyizibwa, ne baweebwa entanda yaabwe ey'emmere, ne bagenda okulwanyisa Abasuuli. Awo ne basiisira okwolekera Abasuuli nga bafaanana ebisibo ebitono bibiri eby'embuzi: naye Abasuuli bo nga baatalaze wonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'Abayisirayeli ne bakuŋŋaanyizibwa, ne baweebwa entanda yaabwe ey'emmere, ne bagenda okulwanyisa Abasiriya abo. Abayisirayeli ne basiisira okuboolekera nga bali ng'obugana bw'embuzi obuto bubiri, naye Abasiriya nga babunye wonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri ne bayolesebwa ne baweebwa entanda yaabwe, ne babatabaala: awo abaana ba Isiraeri ne basiisira okuboolekera nga bafaanana ebisibo bibiri ebitono eby'abaana b'embuzi: naye Abasuuli ne babuna ensi.