1 Kings 20:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu wa Katonda n'ayambuka ewa kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Kubanga Abaaramu baagambye nti Omukama lubaale wa nsozi si lubaale wa biwonvu, eggye eryo lyonna nzija kuliwaayo mu mikono gyo; munaamanya nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusajja wa Katonda n’asembera, n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olw’okuba Abasuuli balowooza nga Mukama Katonda wa ku nsozi so si Katonda wa mu biwonvu, ndigabula eggye lino eddene mu mukono gwo, otegeere nga nze Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja wa Katonda n'agenda eri kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olw'okubanga Abasuuli boogedde nti Mukama katonda wa ku nsozi, so si wa mu biwonvu; kyennava ngabula mu mukono gwo eggye lino lyonna eddene, mulyoke mumanye nga nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja wa Katonda n'ajja n'agamba Ahabu kabaka wa Yisirayeli nti: “Mukama agamba nti: ‘Kubanga Abasiriya bagambye nti: Mukama lubaale wa ku nsozi, sso si wa mu biwonvu, eggye lyabwe lino lyonna eddene kyennaava ndiwaayo mu mikono gyo, mmwe mulyoke mumanye nga Nze Mukama.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omusajja wa Katonda n'asembera n'agamba kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga Abasuuli boogedde nti Mukama katonda wa ku nsozi, naye si katonda wa mu biwonvu; kyendiva ngabula mu mukono gwo ekibiina kino kyonna ekinene, nammwe mulimanya nga nze Mukama.