1 Kings 20:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaasigalawo ne baddukira mu kibuga Afeki; ate eyo bbugwe w'ekibuga n'agwira abantu emitwalo ebiri mu kasanvu abaali basigaddewo. Beni-Adadi n'addukira mu kibuga, ne yeekweka mu kisenge mu buziizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalala ne baddukira mu kibuga Afeki, era eyo bbugwe w’ekibuga ekyo gye yagwira ku bantu emitwalo musanvu ku baali bawonyeewo. Benikadadi naye nadduka ne yeekweka mu kibuga mu kimu ku bisenge eby’omunda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abawonawo ne baddukira mu kibuga Afeki; ate eyo ekisenge gye kyabagwirako, ne kibattamu abantu emitwalo ebiri mu kasanvu (27,000). Ne Benikadadi n'adduka n'agenda mu kibuga Afeki ne yeekukuma mu kisenge eky'omunda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaawonawo ne baddukira mu Kibuga Afeki. Eyo ate ekisenge ky'ekibuga ne kigwa ku batabaazi emitwalo ebiri mu kasanvu. Benihadadi n'adduka, n'atuuka mu kibuga, ne yeekweka mu kisenge ekyomunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abalala ne baddukira e Afeki mu kibuga; awo bbugwe n'agwa ku basajja obukumi bubiri mu kasanvu abaasigalawo. Ne Benikadadi n'adduka n'atuuka mu kibuga mu kisenge eky'omunda.