1 Kings 20:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo abasajja ne baguyita mukisa, nabo amangu ago ekigambo ne bakitwala nga bw'akyogedde, ne baddamu nti: “Muganda wo Beni-Adadi.” Kabaka n'agamba nti: “Mugende, mumuleete.” Beni-Adadi n'afuluma n'alaga gy'ali, Akabu n'amulinnyisa mu kigaali kye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ne balowooza nti ako kabonero kalungi, era ne banguwa okwogera nti, “Weewaawo, muganda wo Benikadadi.” Kabaka n’ayogera nti, “Mugende mumuleete.” Benikadadi bwe yavaayo, Akabu n’amuleetera mu gaali lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja abo baali bafuba nnyo okwetegereza ky'anaayogera. Akabu bwe yagamba nti Oyo muganda wange, amangwago ne bakyesibako ne bagamba nti Weewaawo, Ayi kabaka, Benikadadi muganda wo. Akabu n'agamba nti Mugende mumuleete. Benikadadi n'avaayo n'ajja gy'ali. Akabu n'amulinnyisa mu ggaali lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja abo baali bafuba nnyo okwetegereza ky'anaayogera. Ahabu bwe yagamba nti: “Oyo muganda wange,” amangwago ne bakyesibako ne bagamba nti: “Weewaawo, Ssaabasajja, Benihadadi muganda wo.” Ahabu n'agamba nti: “Mugende mumuleete.” Benihadadi n'avaayo, n'ajja gy'ali. Ahabu n'amulinnyisa mu ggaali lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ne balabirira nnyo ne banguwa okwetegereza oba nga bw'ayagala bw'atyo; ne boogera nti Muganda wo Benikadadi. Awo n'ayogera nti Mugende mumuleete. Awo Benikadadi n'afuluma n'ajja gy'ali; n'amulinnyisa mu ggaali.