1 Kings 20:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beni-Adadi n'amugamba nti: “Ebibuga kitange bye yatwala ku kitaawo, nzija kubizza; naawe osobola okwezimbira obutale mu Damasiko nga kitange bwe yakola mu Samariya.” Akabu n'agamba nti: “Nzija kukuteera ku ndagaano.” N'akola naye endagaano, n'amusiibula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Benikadadi n’agamba nti, “Ndikuddiza ebibuga kitange bye yawamba ku kitaawo, era olyessizaawo obutale obubwo ggwe mu Ddamasiko, nga kitange bwe yakola mu Samaliya.” Akabu n’addamu nti, “Nzija kukuleka ogende nga tukoze endagaano.” Era ne bakola endagaano, n’amuleka n’agenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Benikadadi n'amugamba nti Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo, nze nja kubikuddiza, era bw'oyagala oneezimbira obutale ku nguudo ze Ddamasiko, nga kitange bwe yeerimira mu Samaliya. Nange, bwe yayogera Akabu, naakuta ne ndagaano eno. Awo n'alagaana naye endagaano n'amuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Benihadadi n'amugamba nti: “Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo, nze nja kubikuddiza, era bw'onooyagala oneezimbira obutale mu Damasiko, nga kitange bwe yeezimbira mu Samariya.” Ahabu n'agamba nti: “Ku kakalu ako, nja kukuta.” Awo n'akola naye endagaano, n'amuta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Benikadadi n'amugamba nti Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo nze ndibizzaayo; era olyerimira enguudo mu Ddamasiko, nga kitange bwe yeerimira mu Samaliya. Nange, bwe yayogera Akabu, naakuta ne ndagaano eno. Awo n'alagaana naye endagaano n'amuta.