1 Kings 20:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja omu ku bannakibiina ky'abalanzi, ng'agoberera ekigambo ky'Omukama ekyali kimujjidde, yagamba munne nti: “Ntema,” naye oli n'agaana okumutema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku batabani ba bannabbi n’agamba munne nti, “Katonda alagidde onfumite n’ekyokulwanyisa kyo,” naye munne oyo n’agaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja omu ow'okubaana ba bannabbi n'agamba munne olw'ekigambo kya Mukama nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'agaana okumufumita.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja omu ku balanzi, nga Mukama ye amulagidde n'agamba munne nti: “Nkwegayiridde, nfumita.” Kyokka munne n'agaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omusajja omu ow'oku baana ba bannabbi n'agamba munne olw'ekigambo kya Mukama nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'agaana okumufumita.