1 Kings 20:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Kubanga ogaanyi okuwulira eddoboozi ly'Omukama, olunaava we ndi, empologoma ejja kukutta.” Omusajja olwali okugenda, empologoma n'emusanga, n'emutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutabani wa nnabbi n’ayogera nti, “Olw’obutagondera ddoboozi lya Mukama, bw’onooba wakava wano, empologoma eneekutta.” Awo bwe baali kyebajje baawukane, n’asanga empologoma era n’emutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'amugamba nti Kubanga towulidde ddoboozi lya Mukama, laba, bw'onoobanga kyojje onveeko, empologoma eneekutta. Awo bwe yali nga kyajje amuveeko, empologoma n'emusanga n'emutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'amugamba nti: “Nga bw'ojeemedde ekiragiro kya Mukama, bw'onooba nga kyojje ove we ndi, empologoma ejja kukutta.” Era bwe yali nga kyajje ave ono w'ali, empologoma n'emutta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'amugamba nti Kubanga towulidde ddoboozi lya Mukama, laba, bw'onooba nga kyojje onveeko, empologoma eneekutta. Awo bwe yali nga kyajje amuveeko, empologoma n'emusanga n'emutta.