1 Kings 20:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi n'agenda okulindirira kabaka ku kkubo, ne yeefuusa nga yeesibye ekiwero mu maaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’agenda n’alindirira kabaka mu kkubo, ne yeebuzaabuza ng’abisse ekiremba kye ku maaso ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnabbi ne yeebikka ekiremba ku maaso ne yeebuzaabuza, n'agenda n'alindirira kabaka ku kkubo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omulanzi ne yeebikka ekiremba ku maaso ne yeebuzaabuza, n'agenda n'alindirira kabaka ku kkubo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nnabbi n'agenda n'alindirira kabaka mu kkubo, ne yeefuula ng'abisse ekiremba kye ku maaso ge.