1 Kings 20:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka yali ayitawo, omulanzi n'akoowoola ng'agamba kabaka nti: “Omuweereza wo yabadde agenda olutalo we lwabadde lunyiinyittidde, omuntu omu n'ajja gye ndi n'omusibe, n'aŋŋamba nti: ‘Omusajja ono mukuume; bw'abula, obulamu bwo bwe bunamulirira; oba si ekyo, onoosasula talenta eya ffeeza emu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka bwe yali ng’ayitawo, mutabani wa nnabbi n’amukoowoola ng’agamba nti, “Omuddu wo yagenze wakati mu lutalo, ne wabaawo omuserikale eyandetedde omusibe n’aŋŋamba nti, ‘Kuuma omusajja ono. Bw’anaabula ggw’onottibwa mu kifo kye, oba si kyo oteekwa okusasula kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka bwe yali ayitawo, nnabbi n'amukoowoola, n'agamba nti Nze omuweereza wo bwe nali mu lutalo mu ddwaniro omutabaazi omu n'ava eri n'andeetera omusajja, era n'aŋŋamba nti Kuuma omusajja ono. Bw'alibomba, obulamu bwo bw'olisasulamu obubwe, oba oliriwa talanta nnamba eya ffeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka bwe yali ayitawo, omulanzi n'amukoowoola, n'agamba nti: “Nze omuweereza wo bwe nali mu lutalo mu ddwaniro, omutabaazi omu n'ava eri n'andeetera omusajja, era n'aŋŋamba nti: ‘Kuuma omusajja ono. Bw'alibomba, obulamu bwo bw'olisasulamu obubwe, oba oliriwa talanta nnamba eya ffeeza.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka bwe yali ayitawo, n'akaabirira kabaka: n'ayogera nti Omuddu wo yafuluma wakati mu lutalo; kale, laba, omusajja n'akyama n'andeetera omusajja n'ayogera nti Kuuma omusajja ono: okubula bw'aliba ng'abuze, kale obulamu bwo buliba mu kifo ky'obulamu bwe, oba oliriwa talanta ey'effeeza.