1 Kings 20:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'ayanukula nti: “Nga bw'ogambye, mukama wange kabaka: nze ndi wuwo n'ebyange byonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka wa Isirayiri n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, mukama wange kabaka, nze ne bye nnina byonna bibyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mukama wange, ayi kabaka; kyogambye kye kiikyo; nze ndi wuwo ne byonna bye nnina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Weewaawo, mukama wange, ayi kabaka, nze ndi wuwo ne byonna bye nnina bibyo, nga bw'ogambye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Kiri ng'ekigambo kyo, mukama wange, ai kabaka; nze wuwo ne byonna bye nnina.