1 Kings 20:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe natawaanyiziddwa eno n'eri, omusibe n'abomba.” Kabaka wa Yisirayeli n'amugamba nti: “Ogwesalidde wennyini.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuddu wo bwe yali ng’atawaana erudda n’erudda, laba omusajja n’abula.” Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Ogwo musango gwo, era ogwesalidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuddu wo bwe yali ng'atawaana wano na wali, omusajja n'abomba. Awo kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Omusango gwe wennyini ggwe ogwesalidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nze omuweereza wo, bwe nali nga ntawaana eno n'eri, omusajja n'abomba.” Kabaka wa Yisirayeli n'amugamba nti: “Omusango ggwe ogwesalidde ggwe wennyini.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuddu wo bwe yali ng'atawaana eruuyi n'eruuyi, ng'agenze. Awo kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Era bwe gutyo bwe gunaaba omusango gwo; ggwe ogusaze ggwe kennyini.