1 Kings 20:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi n'agamba kabaka nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Kubanga wata mu mikono gyo omusajja gwe nali nsalidde okuzikirizibwa, obulamu bwo bwe bunaasasulira obubwe, n'obw'abantu bo bwe bunaasasulira obw'abantu be.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Otadde omusajja gwe namaliridde okutta. Noolwekyo ggw’ojja okufa mu kifo kye, n’abantu bo bafe mu kifo ky’abantu be.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnabbi n'agamba kabaka nti Mukama agamba nti Nga bwe wata omusajja gwe n'alagira attibwe, n'omuleka n'agenda, obulamu bwo bw'onoosasuza obubwe, n'abantu bo be banadda mu kifo ky'abantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulanzi n'agamba kabaka nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga bwe wata omusajja gwe nalagira attibwe, n'omuleka n'agenda, obulamu bwo bw'onoosasuza obubwe, n'abantu bo be banadda mu kifo ky'abantu be.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga wata omusajja ow'ekiwe gye ndi okuva mu mukono gwo, obulamu bwo kyebuliva bubeera mu kifo ky'obulamu bwe, n'abantu bo baliba mu kifo ky'abantu be.