1 Kings 20:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababaka ne bakomawo, ne bagamba nti: “Beni-Adadi kino ky'agamba: ‘Nakutumidde ne nkusaba ompe ffeeza wo, zaabu wo, bakazi bo ne batabani bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababaka ne baddayo ewa Akabu nate ne bamugamba nti, “Kino Benikadadi ky’agamba nti, ‘Natuma nga njagala ffeeza yo ne zaabu yo, n’abakyala bo n’abaana bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ababaka ne bakomawo eri Akabu ne bamugamba nti Benikadadi akugambye nti Kya mazima nnakutumira ne nkugamba nti effeeza yo n'ezaabu yo, ne bakazi bo, n'abaana bo byange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ababaka ne bakomawo eri Ahabu ne bagamba nti: “Benihadadi agamba nti: ‘Kyamazima nakutumira nga ŋŋamba nti ojja kumpa ffeeza wo ne zaabu wo, ne bakazi bo n'abaana bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ababaka ne bakomawo ne boogera nti Bw'atyo bw'ayogera Benikadadi nti Okutuma nakutumira nga njogera nti Oliwaayo gye ndi effeeza yo n'ezaabu yo ne bakazi bo n'abaana bo;