1 Kings 20:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno enkya mu budde nga buno nzija kutuma abaweereza bange gy'oli, baaze wonna mu lubiri lwo ne mu nnyumba z'abaweereza bo, na buli ky'obala ng'eky'omuwendo bajja kukisibako bakitwale.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olunaku lw’enkya essaawa nga zino nzija kuweereza abakungu bange banoonyeemu mu lubiri lwo ne mu nnyumba z’abakungu bo, era bajja kutwala ebibyo byonna eby’omuwendo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno enkya mu kiseera nga kino nja kukutumira abaddu bange bafeffette olubiri lwo n'ennyumba za baddu bo; buli ekinabasanyusa kyonna bajja kukitwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye enkya, mu budde nga buno, nja kukutumira abakungu bange, baaze olubiri lwo n'amaka g'abakungu bo, era bwe banaatuuka, buli ekikusanyusa kye banaakwatako engalo, bajja kukitwala.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ndikutumira abaddu bange enkya bwe buliba nga kampegaano, kale balikebera ennyumba yo n'ennyumba z'abaddu bo; awo olulituuka kyonna kyonna ekisanyusa amaaso go balikiteeka mu mukono gwabwe ne bakitwala.