1 Kings 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'atumya abakadde bonna mu Yisirayeli n'abagamba nti: “Mulabe, omusajja ono ayagala kuwakula ntalo; yatumye gye ndi ng'ayagala bakazi bange ne batabani bange, ne bwe yasabye ffeeza ne zaabu saagaanyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka wa Isirayiri n’ayita abakadde bonna ab’ensi, n’abagamba nti, “Mulabe omusajja ono bw’anoonya emitawaana! Bwe yatumya bakyala bange n’abaana bange wamu ne ffeeza yange ne zaabu yange, sabimumma.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita abakadde bonna ab'ensi, n'ayogera nti Mutegeere kaakano era mulabe omusajja ono bw'alina ky'atwagaza: kubanga yantumira olw'abakazi bange n'abaana bange n'effeeza yange ne zaabu yange; ne sigaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka wa Yisirayeli n'ayita abakulembeze bonna mu ggwanga, n'abagamba nti: “Abange, mutegeere era mulabe ng'omusajja ono alina ky'atunoonyaako, kubanga yantumira nti mmuwe abakazi bange, n'abaana bange, ffeeza wange, ne zaabu wange, ne sibaako kye ŋŋaana kumuwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita abakadde bonna ab'ensi, n'ayogera nti Mutegeere, mbeegayiridde, mulabe omusajja ono bw'alina ky'atwagaza: kubanga yantumira olw'abakazi bange n'abaana bange n'effeeza yange ne zaabu yange; ne simumma.