1 Kings 20:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kwanukula ababaka ba Beni-Adadi nti: “Mugambe mukama wange, kabaka nti: ‘Kye wasoose okusaba omuweereza wo nzija kukikola, naye kino sisobola kukikola.’ ” Ababaka ne baddayo ne bategeeza Beni-Adadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’addamu ababaka ba Benikadadi nti, “Mutegeeze mukama wange kabaka nti, ‘Omuddu wo nzija kukola byonna bye walagidde ku ntandikwa, naye kino eky’oluvannyuma siyinza kukikola.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyeyava agamba ababaka ba Benikadadi nti Gamba mukama wange kabaka nti Byonna bye wasookerako okutumira omuddu wo ndibikola: naye kino sijja kukikola. Ababaka ne baddayo ne bamuddiza ebigambo ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ahabu n'agamba ababaka ba Benihadadi nti: “Mugambe mukama wange kabaka nti: ‘Byonna bye wasooka okuntumira, nze omuweereza wo, nja kubikola, naye kino siyinza kukikola.’ ” Ababaka ne bagenda ne baddiza Benihadadi obubaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyeyava agamba ababaka ba Benikadadi nti Gamba mukama wange kabaka nti Byonna bye wasookerako okutumira omuddu wo ndibikola: naye kino siyinza kukikola. Ababaka ne bagenda ne bamuddiza ebigambo.