1 Kings 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musseewo abasajja babiri empongabyoya bamulumirize nti: ‘Yavumirira Katonda ne kabaka.’ Olwo mumufulumye, mumukube amayinja, afe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era mutuuze abasajja babiri okumwolekera bamuwaayirize nti akolimidde Katonda ne kabaka. Oluvannyuma mumutwale ebweru mumukube amayinja, mumutte.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
muleete abasajja babiri abataliimu nsa, bamulumirize nti Wakolimira Katonda ne kabaka. Mulyoke mumuggyewo, mumukube amayinja afe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleete mu maaso ge abasajja babiri abataliimu nsa, bamulumirize nti: ‘Wavuma Katonda ne kabaka!’ Olwo mulyoke mumuggyewo, mumukube amayinja, afe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
muteeke abasajja babiri aba Beriali mu maaso ge, bamulumirize nga boogera nti Wakolimira Katonda ne kabaka. Mulyoke mumuggyewo, mumukasuukirire amayinja afe.