1 Kings 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu b'omu kibuga kye, abakadde n'abakungu bwe baabeeranga ne Naboti mu kibuga, ne bakola nga Yezebeli bwe yali alagidde, nga bwe yali awandiise mu bbaluwa ze yabaweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga ekyo ne bakola nga Yezeberi bwe yalagira mu mabaluwa ge yabawandiikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu b'omu kibuga Yezuleeri, abakadde n'abakungu abaabeera mu kibuga kye ne bakola nga Yezeberi bw'abatumidde, nga bwe kyawandiikibwa mu bbaluwa ze yabaweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu b'omu kibuga Yezireeli, abakulembeze n'abakungu, ne bakola nga Yezebeeli bwe yabalagira mu bbaluwa ze yabaweereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ab'omu kibuga kye abakadde n'abakungu abaabeera mu kibuga kye ne bakola nga Yezeberi bw'abatumidde, nga bwe kyawandiikibwa mu bbaluwa ze yabaweereza.