1 Kings 21:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja babiri empongabyoya ne bayingira ne batuula mu maaso ge; ne balumiriza Naboti mu maaso g'abantu nga bagamba nti: “Naboti yavumirira Katonda ne kabaka.” Olw'okubeera ekyo, ne bamufulumya ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja, n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja babiri ne bajja ne batuula okumwolekera ne bamuwaayiriza mu maaso g’abantu nga bagamba nti, “Nabosi yakolimidde Katonda ne kabaka.” Awo abantu ne bamutwala ebweru w’ekibuga ne bamukuba amayinja ne bamutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja ababiri abataliimu nsa ne bayingira ne batuula mu maaso ga Nabosi, ne bamulumiriza mu maaso g'abantu nga bagamba nti Nabosi yakolimira Katonda ne kabaka. Awo ne bamuggya mu kibuga, ne bamukuba amayinja n'afa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja babiri ne batuula mu maaso ge. Abasajja abo ne bamulumiriza mu maaso g'abantu nga bagamba nti: “Naboti yavuma Katonda ne kabaka.” Abantu ne bamutwala ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja, n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja babiri abaana ba Beriali ne bayingira ne batuula mu maaso ge: abasajja ba Beriali ne bamulumiriza, nga balumiriza Nabosi mu maaso g'abantu, nga boogera nti Nabosi yakolimira Katonda ne kabaka. Awo ne bamuggya mu kibuga, ne bamukasuukirira amayinja n'afa.