1 Kings 21:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezebeli bwe yawulira nti Naboti akubiddwa amayinja era afudde, n'agamba Akabu nti: “Situka, weetwalire ennimiro y'emizabbibu eya Naboti ow'e Yezureeli eyagaana okugikuguza, kubanga Naboti takyali mulamu, afudde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago Yezeberi bwe yawulira nti Nabosi yakubibwa amayinja era n’afa, n’agamba Akabu nti, “Golokoka otwale ennimiro ey’emizabbibu eya Nabosi Omuyezuleeri gye yagaana okukuguza, kubanga takyali mulamu, mufu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Yezeberi bwe yawuliranga Nabosi akubiddwa amayinja, era ng'afudde, Yezeberi n'agamba Akabu nti Situka otwale olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri lwe yagaana okukuguza: kubanga Nabosi takyali mulamu naye afudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yezebeeli bwe yawulira nga Naboti akubiddwa amayinja, era ng'afudde, n'agamba Ahabu nti: “Situka, ogende weefunire ennimiro ey'emizabbibu eya Naboti Omuyezireeli, gye yagaana okukuguza, kubanga Naboti oyo takyali mulamu, wabula mufu wa jjo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Yezeberi bwe yawulira Nabosi ng'akasuukiriddwa amayinja era ng'afudde, Yezeberi n'agamba Akabu nti Golokoka olye olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri lwe yagaana okukuwa olw'ebintu kubanga Nabosi takyali mulamu naye afudde.