1 Kings 21:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Situka, serengeta osisinkane Akabu kabaka wa Yisirayeli ali mu Samariya, wuuli ali mu nnimiro ya Naboti ey'emizabbibu, gy'aserengese agitwale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Serengeta eri Akabu kabaka wa Isirayiri afugira mu Samaliya, kubanga laba ali mu nnimiro ey’emizabbibu eya Nabosi era agenze okugitwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Situka oserengete okusisinkana ne Akabu kabaka wa Isiraeri atuula mu Samaliya: laba, ali mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi gy'aserengese okulutwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Situka, ogende osisinkane Ahabu kabaka wa Yisirayeli abeera mu Samariya. Kaakano ali mu nnimiro y'emizabbibu eya Naboti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Golokoka oserengete okusisinkana ne Akabu kabaka wa Isiraeri atuula mu Samaliya laba, ali mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi gy'aserengese okululya.