1 Kings 21:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugambe nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Osse, oyongeddeko n'okutwala.’ Ng'omaze ebyo, omugambe nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Mu kifo embwa we zikombereredde omusaayi gwa Naboti, we zirikombererera n'ogugwo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Tosse omusajja n’okutwala n’otwala obugagga bwe?’ Olyoke omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Osse era olidde? Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mu kifo embwa mwe zirikombera omusaayi ogugwo gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onoomugamba nti: ‘Mukama agamba nti: Otemudde omuntu, era otutte n'ebibye?’ Era onoomugamba nti: ‘Mukama agamba nti: Mu kifo embwa mwe zaakombedde omusaayi gwa Naboti, era mwe zinaakombera n'omusaayi gwo ggwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Osse era olidde? era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mu kifo embwa mwe zaakombera omusaayi gwa Nabosi, embwa mwe zirikombera omusaayi gwo, weewaawo, ogugwo.