1 Kings 21:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akabu n'agamba Naboti nti: “Mpa ennimiro yo ey'emizabbibu, nfuulewo ennimiro y'enva, nga bw'eriraanye wano okumpi n'olubiri lwange, mu kifo kyayo nkuweemu ennimiro y'emizabbibu esinga obulungi, oba, nga kwe kusiima kwo, nkuweemu omuwendo gwa ffeeza ogugigyamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akabu n’agamba Nabosi nti, “Mpa ennimiro yo ey’emizabbibu nnimiremu enva, nga bw’eriraanye olubiri lwange. Mu kifo kyayo nzija kukuwaamu ennimiro ey’emizabbibu endala, oba bw’onoosiima, nnaakusasulamu omuwendo ogugigyamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akabu n'agamba Nabosi nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu mbeere nalwo okuba olusuku lw'enva, kubanga luli kumpi n'ennyumba yange; nange ndikuwa mu kifo kyalwo olusuku olw'emizabbibu olusinga obulungi: oba bw'onoosiima, ndikuwa ebintu ng'omuwendo gwalwo bwe guli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ahabu n'ayogera ne Naboti, ng'agamba nti: “Mpa ennimiro yo ey'emizabbibu. Nga bw'eri okumpi n'olubiri lwange, njagala efuuke ennimiro yange ey'enva. Nze mu kifo kyayo, nja kukuwaamu ennimiro endala ey'emizabbibu esingako obulungi. Oba bw'onoosiima, nja kukusasulamu omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)