1 Kings 21:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akabu n'agamba Eliya nti: “Era onsanze, ggwe omulabe wange?” N'amugamba nti: “Nkusanze, kubanga weetunda, okole ekibi mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akabu n’agamba Eriya nti, “Onsanze, ggwe omulabe wange!” N’amuddamu nti, “Nkusanze, kubanga weewaddeyo okukola ebibi mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akabu n'agamba Eriya nti Ongwikirizza, ggwe omulabe wange? Eriya n'addamu nti Nkugwikirizza. Kubanga weewaddeyo okukola ebiri mu maaso ga Mukama ebibi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ahabu n'agamba Eliya nti: “Ongwikirizza, ggwe omulabe wange?” Eliya n'addamu nti: “Nkugwikirizza. Nga bwe weeweereddeyo ddala okukola ebitasanyusa Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akabu n'agamba Eriya nti Ondabye, ggwe omulabe wange? N'addamu nti Nkulabye: kubanga weetunze okukola ebiri mu maaso ga Mukama ebibi.