1 Kings 21:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyumba yo nzija kugikola nga bwe nakola ennyumba ya Yerobowamu mutabani wa Nebati, n'ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya, kubanga onnyiizizza ate n'oleetera ne Yisirayeli okugwa mu kibi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndifuula ennyumba yo okuba nga eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n’eya Baasa mutabani wa Akiya, olw’okusunguwaza kwe wansunguwaza bwe wayonoonyesa Isirayiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati n'okufaanana ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya olw'okusunguwaza kwe wansunguwaza n'oyonoonyesa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'ennyumba yo ndibafuula ng'ab'ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, era ng'ab'ennyumba ya Baasa mutabani wa Ahiya, kubanga wansunguwaza olw'okuleetera Yisirayeli okwonoona.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerubowaamu mutabani wa Nebati n'okufaanana ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya olw'okusunguwaza kwe wansunguwaza n'oyonoonyesa Isiraeri.