1 Kings 21:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abava mu Akabu abaliba bafiiridde mu kibuga, embwa ziribakavvula, abaliba bafiiridde ku ttale ebinyonyi eby'omu bbanga biribalya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embwa ziririira omuntu yenna owa Akabu alifiira mu kibuga, ate ennyonyi zirye abo bonna abalifiira ku ttale.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'omu nnyumba ya Akabu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Owuwo ggwe Ahabu, anaafiira mu kibuga, embwa zinaamulya, n'oyo anaafiira ku ttale, ebinyonyi binaamulya.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Owa Akabu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n’oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga,