1 Kings 21:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewabangawo muntu yenkana Akabu, eyeetunda akole ekibi mu maaso g'Omukama oluvannyuma lw'okufukuutirirwa Yezebeli mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali musajja eyafaanana nga Akabu, eyeewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama ng’awalirizibwa mukazi we Yezeberi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali yenkana Akabu okwewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama, nga mukazi we Yezeberi amupikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala tewali yatuuka ku Ahabu mu kweweerayo ddala kukola bitasiimibwa Mukama. Mukazi we Yezebeeli ye yamupikirizanga okubikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Naye tewali eyafaanana Akabu eyeetunda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi Yezeberi mukazi we gwe yapikiriza.