1 Kings 21:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeeyisa bubi nnyo nga yeesiga ebifaananyi bya balubaale ng'Abaamori bwe baakolanga, abo Omukama be yagobawo mu maaso g'abantu ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakola eby’ekivve ng’agoberera ebifaananyi bya bakatonda, ng’Abamoli be yagoba mu maaso g’abantu ba Isirayiri bwe baakolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akabu n'akolanga eby'emizizo ennyo ng'asinza ebifaananyi byonna, nga Abamoli Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri bwe baakolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahabu n'akolanga ebyenyinyalwa ennyo, ng'asinza ebifaananyi, ng'Abaamori, Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akolanga eby'emizizo ennyo ng'agoberera ebifaananyi nga byonna bwe byali Abamoli bye baakolanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.)