1 Kings 21:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye, omubiri gwe n'agwambaza ebikutiya, n'asiiba. N'asulanga ku kikutiya, ng'atambula akotese omutwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ayuza engoye ze, n’ayambala ebibukutu n’okusiiba n’asiiba. N’agalamira mu bibukutu, era n’atambula nga yeewombeese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'eyesiba ebibukutu ku mubiri gwe. N'atalya mmere, n'asula mu bibukutu, n'atambula mpola ng'anakuwadde ng'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'ayambala bikutiya ku mubiri gwe. N'atalya mmere, n'asula mu bikutiya, n'atambula mpola ng'anyiikadde ng'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu ku mubiri gwe n'asiiba n'agalamira ng'ayambadde ebibukutu n'atambula mpola.