1 Kings 21:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tolabye Akabu bwe yeetoowazizza mu maaso gange? Kubanga yeetoowazizza mu maaso gange, akabi sijja kukaleeta mu budde bwe, wabula nzija kukaleetera ennyumba ye mu budde bwa mutabani we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Olabye Akabu bwe yeewombeese mu maaso gange? Olw’okubanga yeewombeese mu maaso gange, sirireeta kabi ako mu mirembe gye, naye ndikaleeta mu nnyumba ye mu mirembe gya mutabani we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olabye Akabu bwe yeetoowazizza mu maaso gange? Kubanga yeetoowaza mu maaso gange, sirireeta kabi ako ku mirembe gye: naye ku mirembe gya mutabani we bwe ndireeta akabi ako ku nnyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olabye Ahabu bwe yeetoowazizza mu maaso gange? Kale nga bwe yeetoowazizza mu maaso gange, akabi sirikaleeta mu mulembe gwe, wabula ndikaleeta ku b'ennyumba ye mu mulembe gwa mutabani we.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olaba Akabu bwe yeetoowaza mu maaso gange? kubanga yeetoowaza mu maaso gange, sirireeta kabi ako ku mirembe gye: naye ku mirembe ya mutabani we bwe ndireeta akabi ako ku nnyumba ye.