1 Kings 21:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akabu n'addayo mu lubiri lwe nga munakuwavu, musunguwavu, olwa Naboti ow'e Yezureeli kye yali amugambye nti: “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” Ne yeebaka ku kitanda kye, n'akyukira eri, n'agaana n'okulya emmere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akabu n’addayo eka ng’annyogoze nnyo era nga munyiivu kubanga Nabosi Omuyezuleeri yamugamba nti, “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” N’agalamira ku kitanda kye nga yeesooza, n’agaana n’okulya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akabu n'ayingira mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Nabosi Omuyezuleeri ky'amugambye: kubanga yagamba nti Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange. Akabu n'agalamira ku kitanda kye nga atunuulidde ekisenge, n'agaana okulya emmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahabu n'addayo ewuwe ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Naboti ow'e Yezireeli ky'amugambye nti: “Sijja kukuwa mugabo ogwaweebwa bajjajjange.” N'agalamira ku kitanda kye, n'atunula eri, n'agaana n'okulya emmere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akabu n'ayingira mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Nabosi Omuyezuleeri ky'amugambye: kubanga ayogedde nti Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange. N'agalamira ku kitanda kye n'akyusa amaaso ge n'atakkiriza kulya ku mmere.