1 Kings 21:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezebeli mukazi we n'ayingira gy'ali n'amugamba nti: “Lwaki omutima gwo munakuwavu gutyo? Lwaki ogaanyi okulya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yezeberi mukazi we n’ayingira, n’amubuuza nti, “Lwaki onnyogoze nnyo bw’otyo n’okulya n’otalya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukazi we Yezeberi n'ajja gy'ali, n'amubuuza nti Kiki ekinakuwazizza obwenkanidde awo, n'otuuka n'obutalya mmere?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukazi we Yezebeeli n'ajja gy'ali n'amubuuza nti: “Kiki ekikunakuwazizza obwenkanidde awo, n'otuuka n'obutalya mmere?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yezeberi mukazi we n'ajja gy'ali, n'amugamba nti Kiki ekinakuwazizza omwoyo gwo obwenkanidde awo, n'okulya n'otolya ku mmere?