1 Kings 21:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amuddamu nti: “Kubanga nayogedde ne Naboti ow'e Yezureeli, ne mmugamba nti: ‘Nguza ennimiro yo ey'emizabbibu otwale sente, oba, nga ky'osiimye, mu kifo ky'eno nkuweemu endala.’ Ye n'agamba nti: ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ya mizabbibu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Kubanga ŋŋambye Nabosi Omuyezuleeri antunze ennimiro ye ey’emizabbibu, oba bw’anaasiima muwaanyiseemu ennimiro endala. Naye agambye nti, ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ey’emizabbibu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti Kubanga njogedde ne Nabosi Omuyezuleeri ne mmugamba nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu olw'ebintu; oba bw'onoosiima, ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olulala mu kifo kyalwo: n'addamu nti Sijja kukuwa lusuku lwange olw'emizabbibu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahabu n'addamu nti: “Kubanga njogedde ne Naboti ow'e Yezireeli ne mmugamba nti: ‘Mpa ennimiro yo ey'emizabbibu ng'oginguza, oba bw'osiima, nkuweemu ennimiro endala ey'emizabbibu mu kifo kyayo,’ n'addamu nti: ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ey'emizabbibu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)