1 Kings 21:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu n'azissaako akabonero ke, n'aziweereza abakadde n'abakungu, abaabeeranga ne Naboti mu kibuga kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yezeberi n’awandiika amabaluwa mu linnya lya Akabu, n’agassaako akabonero ke, era n’agaweereza eri abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga kya Nabosi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yezeberi n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu, n'azissaako akabonero ka kabaka, n'aweereza ebbaluwa abakadde n'abakungu abaali mu kibuga Nabosi mwabeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yezebeeli n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Ahabu, n'azissaako akabonero ka Ahabu, n'aziweereza abakulembeze n'abakungu ab'omu kibuga Naboti mw'abeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu, n'azissaako akabonero ke, n'aweereza ebbaluwa abakadde n'abakungu abaali mu kibuga kye era abaatuula awali Nabosi.