1 Kings 22:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli ne Yosafati kabaka wa Yuda, buli omu yali atudde ku nnamulondo ye nga bayambadde emitanvuuwa gy'obwakabaka, mu gguuliro okumpi n'omuzigo gwa wankaaki wa Samariya, ng'abalanzi bonna bali awo mu maaso gaabwe balanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka wa Isirayiri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nga bambadde ebyambalo byabwe eby’obwakabaka era nga batudde ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka mu mulyango ogwa wankaaki w’ekibuga Samaliya, nga ne bannabbi bonna balagulira awo we baali;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagulira mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli, ne Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya, nga bambadde ebyambalo byabwe eby'obwakabaka ne batuula buli omu ku ntebe ye ey'obwakabaka, mu mbuga eri okumpi n'omulyango omunene ogwa Samariya. Abalanzi bonna ne balanga mu maaso gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagulira mu maaso gaabwe.