1 Kings 22:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Zedekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe ag'ekyuma, n'agamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Na gano ojja kutomera Aramu okutuusa ng'omuzikirizza.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zeddekiya mutabani wa Kenaana yali yeekoledde amayembe ag’ebyuma, n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olisindikiriza Abasuuli ne gano okutuusa lwe balisaanyizibwawo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Zeddeekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ekyuma, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Amayembe gano g'oneeyambisa okulwanyisa Abasiriya okutuusa lw'olibasaanyaawo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo.