1 Kings 22:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abalanzi bonna baali balanga kimu, nga bagamba nti: “Lumba Ramoti-Gileyaadi, ojja kuwangula. Omukama ajja kukiwaayo mu mikono gya kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannabbi abalala bonna nabo baalagula kye kimu, nga boogera nti, “Yambuka olumbe Lamosugireyaadi obe muwanguzi kubanga Mukama ajja kukigabula mu mukono gwa kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga boogera nti Genda e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abalanzi abalala bonna ne balanga bwe batyo, nga bagamba nti: “Genda olumbe Ramoti-Gileyaadi, okiwangule. Mukama ajja kukikuwa okiwangule.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bannabbi bonna ne balaguIa bwe batyo, nga boogera nti Yambuka e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.