1 Kings 22:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubaka eyali agenze okuyita Mikaaya yamugamba nti: “Abalanzi bonna wamu balanze kimu nti kabaka ajja kuwangula; naawe langa kye kimu, yogera bisanyusa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubaka eyatumibwa okuleeta Mikaaya n’amugamba nti, “Laba ebigambo bya bannabbi abalala biragula buwanguzi eri kabaka, kale ekigambo kyo nakyo kikkiriziganye nabyo, oyogere bulungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'agamba Mikaaya nti Bannabbi abalala bonna ebigambo bye boogedde ku kabaka birungi. Balanze nti kabaka ajja kuwangula. Nkwegayiridde naawe ekigambo ky'onooyogera kibe ng'ebyabwe, oyogere birungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'agamba Mikaaya nti: “Abalanzi abalala bonna ebigambo bye boogedde ku kabaka birungi. Balanze nti kabaka ajja kuwangula. Nkwegayirirdde naawe ekigambo ky'onooyogera kibe ng'ebyabwe, oyogere birungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti Laba nno, ebigambo bya bannabbi bibuulira kabaka ebirungi n'akamwa kamu: nkwegayiridde, ekigambo kyo kifaanane ekigambo ky'omu ku bo, oyogere ebirungi.