1 Kings 22:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ajja ewa kabaka; kabaka n'amubuuza nti: “Mikaaya, ŋŋende nnwanyise Ramoti-Gileyaadi, oba mbireke?” N'amwanukula nti: “Lumba owangule! Kubanga Omukama ajja kukiwaayo mu mikono gya kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatuuka awali kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Mikaaya tulumbe Lamosugireyaadi, nantiki tulekeyo?” N’amuddamu nti, “Kirumbe obe muwanguzi kubanga Mukama anakigabula mu mukono gwa kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yatuuka eri kabaka, kabaka n'amubuuza nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? N'amuddamu nti Yambuka olabe omukisa; era Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mikaaya bwe yatuuka mu maaso ga kabaka, kabaka n'amubuuza nti: “Mikaaya, tulumbe Ramoti-Gileyaadi tukirwanyise, oba tulekeyo?” Mikaaya n'amuddamu nti: “Lumba, ojja kuwangula, Mukama ajja kukiwaayo mu mikono gyo, ayi Ssaabasajja!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yajja eri kabaka, kabaka n'amugamba nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? N'amuddamu nti Yambuka olabe omukisa; era Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.