1 Kings 22:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mikaaya n'ayongera n'agamba nti: “Kale nno wulira ekigambo ky'Omukama: Nalaba Omukama ng'atudde ku nnamulondo ye, n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga limuli ku ddyo ne ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mikaaya n’ayogera nti, “Noolwekyo wulira ekigambo kya Mukama nti: Nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka nga n’eggye lyonna ery’omu ggulu liyimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne mukono gwe ogwa kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti Kale wulira ekigambo kya Mukama. Ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye ey'obwakabaka, ng'eggye lyonna ery'omu ggulu liyimiridde ku ludda lwe olwa ddyo n'olwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mikaaya ne yeeyongera okugamba nti: “Kale wulira ekigambo kya Mukama. Ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye ey'obwakabaka, ng'eggye lyonna ery'omu ggulu liyimiridde ku ludda lwe olwa ddyo n'olwa kkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Kale wulira ekigambo kya Mukama: ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde gy'ali ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono.