1 Kings 22:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: ‘Ani anaalimbalimba Akabu alumbe Ramoti-Gileyaadi afiireyo?’ Omu n'ateesa kino, n'omulala n'ateesa kiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’ayogera nti, ‘Ani anaasendasenda Akabu ayambuke okulumba Lamosugireyaadi afiire eyo?’ Omu ku bo n’addamu bulala, n’omulala n’addamu bulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'abuuza nti Ani anaasendasenda Akabu agende e Lamosugireyaadi attibwe? Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'abuuza nti: ‘Ani anaasendasenda Ahabu ayambuke e Ramoti-Gileyaadi attibwe?’ Omu n'ayogera kino, omulala n'ayogera kiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Ani anaasendasenda Akabu ayambuke e Lamosugireyaadi agwe? Omu n'ayogera bw'atyo; omulala n'ayogera bw'atyo.