1 Kings 22:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gumu kwe kuvaayo ne guyimirira mu maaso g'Omukama, ne gugamba nti: ‘Nze nzija kumulimbalimba.’ Omukama n'agubuuza nti: ‘Onookikola otya?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku nkomerero ne wavaayo omwoyo ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti, ‘Nze nnaamusendasenda.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze n'amusendasenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne wavaayo omwoyo, ne guyimirira mu maaso ga Mukama, ne gugamba nti: ‘Nze nja kumusendasenda.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze naamusendasenda.