1 Kings 22:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mikaaya n'agamba nti: “Bw'okomangawo emirembe, mpozzi ng'Omukama teyayogeredde mu nze.” Awo n'agamba nti: “Abantu mwenna, muwulire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mikaaya n’alangirira nti, “Bw’olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze.” Era n’ayongerako nti, “Mugenderere ebigambo byange, mmwe abantu mwenna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mikaaya n'agamba nti Bw'oli komawo emirembe, nga Mukama tayogeredde mu nze. N'ayongerako nti Muwulire, abantu mmwenna, kye njogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mikaaya n'agamba nti: “Bw'olikomawo emirembe, nga Mukama tayogeredde mu nze.” N'ayongerako nti: “Muwulire, abantu mwenna, kye njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mikaaya n'ayogera nti Okukomawo bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze. N'ayogera nti Muwulire, mmwe amawanga mwenna.