1 Kings 22:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yosafati nti: “Nzija kugenda mu lutalo nga neefusizza, ggwe yambala ebyambalo by'obwakabaka.” Kabaka wa Yisirayeli ne yeefuusa mu maaso, n'ayingira mu lutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka wa Isirayiri n’agamba Yekosafaati nti, “Nzija kugenda mu lutalo nga nneefudde omuntu omulala, naye ggwe oyambale ebyambalo eby’obwakabaka.” Awo kabaka wa Isirayiri ne yeefuula omuntu omulala n’agenda mu lutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Nja kwefuula nnyingire mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula n'ayingira mu lutalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli n'agamba Yehosafaati nti: “Okuyingira mu lutalo, nze nja kugenda nga nneebuzizzabuzizza nfaanane ng'omuntu omulala, naye ggwe ojja kwambala ebyambalo byo eby'obwakabaka.” Awo ne bagenda mu lutalo, nga kabaka wa Yisirayeli yeebuzaabuzizza afaanana muntu mulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Neefuula ne nnyingira mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula n'ayingira mu lutalo.